Song Lyrics: Nasiriwala by Cion King

Posted on Dec 05, 2020
By Admin
951 Views


INTRO
Cion King, In a Jemo Production
Ona nah nah naah


CHORUS
Nasiriwala, nze bali bannyonoona
Bannyonoona nasiriwala.
Nze bali bannyonoona.
Kati siyina mukwano manya.
Nze bali bannyonoona, Bannyonoona nasiriwala.
Nze bali bannyonoona.
Kati siyina mukwano.


VERSE ONE
Mateeka, eby'omukwano mateeka.
Mutandika bulungi biggwera mu mateeka.
Eby'omukwano mateeka, kati wa w'onteeka?
Towoneka naye nnayabika, (nnayabika)
Baby nnawanika
Mukwano leka,
Mmenyeka,
Ebyo nnabitawanika
Oli mulungi nze era onsuza bukiika.
Naye abasinga emitima bagikweka.
Mu kusooka, aba mufirika.
Naye biwunzika firimu ya bamerica.


CHORUS


VERSE TWO
Yooo, Kati omukwano gwa kukukuta.
Oba waakaweta nga aleeta.
Muba serious gwe buuza Genius.
Jemo Pro gikube serious.
Obisanga ku police. (Police)
Abaalina omukwano ku police.
Baali babiri kati bikoosi.
Nga abataaliwo b'ebakuba bbaasi.
Tewali love kati mw'eno ensi.
Buyaaye na bulimba kati mw'eno ensi.
Mu nsi ya love temuli justice.
Ne government tetuwa balance.


CHORUS x2


VERSE THREE
Mu love ndi muwuulu.
Nayita mu ttanuulu.
Nkusasula busuulu.
Ombuzizza emirembe.
Mwana gwe gw'ali ku mulembe.
Eno love esala nga kambe.
Kale bambi ombuzizza emirembe.
Nkimanyi toli mmere ya lumbe.
Naye ssikumanyidde nkusabye mmirembe.
Nze omukwano gwo gunsimbye.
Tugezeeko mukwano tulumbe.


CHORUS
 

You May Like

Most Popular

  • Today
  • This Week
  • This Month
X